
Kafulu mu kuvulumula emmotoka z’empaka Posiano Lwakataka olwaleero asuubirwa okudda mu kkooti enkulu e Masaka ku misango gy’obutemu.
Ku ntandikwa y’omwezi guno Lwakataka ne banne bwebavunanibwa okuli Vincent Fangesi ne Emmanuel Zinda baalabikako mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu e Masaka , John Keitirima eyabasindika ku alimanda e Luzira oluvanyuma lw’okwegaana emisango gino.
Kkooti nga 14 January yatandika okuwulira omusango gwa Rwakataka ne banne abalala ku musango gw’okutta paasita Steven Mugambe owa kanisa ya Kyebe Pentecostal mu disitulikiti ye Rakai n’abenyumba ye bonna abaaliwo mu kiseera ekyo.
Muddu Asuman omu ku bavunanibwa ne Lwakataka wiiki ewedde y’asindikibwa mu kkomera obulamu bwe bwonna oluvanyuma lw’omusango gw’okutta abantu 9 ab’enyumba emu okumukka muvvi.
Era oludda oluwaabi lwategeeza nga ababiri okuli Fangesi Vincent amanyiddwa enyo nga Kanyama ne Emanuel Zzinda bwebakkiriza nga bwepangisibwa Lwakataka ku bukadde 30 okutta omugenzi Mugambe n’abenyumba ye beyali nabo.