Skip to content Skip to footer

Akakiiko akatesiteesi kamazalibwa ga Kabaka katuuse’Buddu

Bya Gertrude Mutyaba

Akakiiko akategeka amazaalibwa ga Ssaabasajja Kabaka ag’emyaka 63 katuuse e Villa-Maria mu district y’eKalungu awagenda okubeera emikolo gino nga 13 April 2018, okwekenneenya ekifo n’okulambika enteekateeka ezigenda okugobererwa.

Akakiiko kano kakulembeddwamu sentebe waako ow’ekitiibwa Apollo Nelson Makubuya saako Minister avunaanyizibwa ku ntambula za Ssaabasajja ow’ek. Mariam Mayanja Nkalubo, n’abalala basabye banna Buddu enteeka teeka zonna zebakola bazikole n’okwagala.

Makubuya ategeezezza nti waakuteekebwawo ekijjukizo ky’amazaalibwa ga Ssaabasajja ku Welcome nga kino kijja kuzimbibwa mu ngeri y’ekiyitirirwa eky’omulebe.

 Makubuya asabye abali mu nteeka teeka eno okulowooza ennyo ku bayizi b’amasomero saako n’abavubuka okwenyigira butereevu mu mukolo guno.

Emisinde gy’okukuza amazaalibwa ga Ssaabasajja gigenda kubeera Buddu ne Kampala mu nnaku z’omwezi 8,ku Sunday omwezi ogujja ate okumusabira mu masinzizo gonna kwakubeerawo nga 6,7 ne 8 omwezi gwe gumu.

Leave a comment

0.0/5