Skip to content Skip to footer

Byabakama atangaziza ku bululu obutagatibwa

Bya Juliet Nalwooga,

Sentebe wákakiiko ke byokulonda omulamuzi Simon Byabakama awakanyiza ebibadde ebigambibwa nti ebifo ebilondebwamu ebitagatibwa byava mu kulonda, byali bifo omuli abawagizi bé kibiina kya NUP.

Bwabadde ayogerako ne bannamawulire enkya ya leero, Byabakama agambye nti alizati okuva mu bifo ebilondebwamu 83 tezagattibwa kwebyo ebyalangirirwa ku bwa pulezidenti olwensonga nti waliyo okubba obululu ate mu bifo ebimu kyazuulibwa nti obululu obwakubwa bwali businga abalonzi obungi.

Disitulikiti obululu gyebutabalibwa kuliko Insingiro, Kole, Wakiso, Kampala Mukono, Ssembabule, Sironko, Kotido, Kyotera, Jinja, Soroti, Bundibugyo, Rakai, Bukomasimbi and Gomba.

Obululu obwali butabalibwa buwera 54, 357 era Byabakama agambye nti tebulina kyebukyusa ku byalangirirwa gye buvudeko

Yoweri Museveni yalangirirwa ku buwanguzi ne bitundu 58.38% kati oluvanyuma lwokugatako obupya asse okudda ku 58.3% ate Robert Kyagulanyi eyakwata ekyokubiri nóbulu 34.83% kati yeyongedde okulinya bwafunye obululu 35.08%

Leave a comment

0.0/5