
Bya Rita Kemigisa,
Omukubiriza wólukiiko lwe ggwanga olukulu, Rebecca Kadaga atadde gavt kunninga eveeyo enyonyole eggwanga ddi abayizi lwe badda ku masomero
Ono agamba nti gavt ku lwokusatu lwa ssabiiti ejja erina okuvaayo etangaze bannauganda bamanye ekigenda mu maaso ku bikwata ku biseera by’omumaaso bya baana baabwe
Bino bibadde mu lutuula lwa palamenti olutudde olunaku olwaleero, omubaka wa Kalungu West Joseph Ssewungu, yaleese ekiteeso kino nategeeza nti abazadde, abasomesa, nabayizi benyini bebuuza ddi lwebadda ku masomero, kuba waliwo amasomero agasomesa mu bubba
Ate ye omubaka w’e Kira Municipaalit Ssemujju Nganda ayagala kumanya ekigenda okukolebwa ku bazadde ku zi-university abasasula edda ebisaale wabula ngolunaku lwajjo gavt yabategezeza nga bwe bagenda okusigala ewaka okumala emyezi 3
Ate ababaka abalala bemulugunyiza lwaki gavt tenavaayo kulaga engeri covid gyakosezaamu abayizi abali mu mwaka gwabwe ogusembayo abakkirizibwa okudda ku masomero