Bya Arthur Wadero
Abanonyereza ku ttendekero ekkulu mu gwanga, okuva ku College yebyenjigiriza bakoze okunonyereza, wabula kulaze nti abayizi ku mutendera gwa Doctor of Philosophy oba PhD mpaawo kyamanyi kyebagasse ku nkulakulana ye gwanga.
Alipootaa yakoleddwa oluvanyuma lwokunonyereza kwebakoze ku matendekero aga waggulu 14, agattikira degree eyokubiri ngabantu 49 bebetabye mu kunonyereza kuno.
Ebimu ku byebabadde balubirirdde mu kunonyereza kuno, kwekuzuula obanga ddala obuyigirize bwebawa nga buli ku mutindo.
Bwebabadde bafulumya alipoota eno, omu ku banonyereza Dr Tom Balojja, agambye nti abamu ku battikirwa PhD bbasanze nga tebalina bukugu obwobuliwo ku byebasoma.
Kati, okumu ku kuwabula kwebakoze, basabye gavumenti eyongeremu amaanyi okuwa abattikirwa obyukugu obwobuliwo kwebyo byebabeera basomye, obutakoma mu bitabo.