Bya Kyeyune Moses.
Ababaka ba parliament abavuganya gavument, kko nabatawagira ky’akukyujja komo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga basazeewo okuzira palamenti
Bano nga bakulembedwamu akulira oludda oluvuganya gavumenti Winnie Kiiza bagamba nti kino bakikoze lw’akwagala kwegata kubanaabwe 24 sipiika beyagobye mu palament olunaku lwajjo.
Ono agamba nti tekikola makulu okusigala nga bakiika, songa banaabwe bwebabade balwana entalo bagobeddwa.