
Ssenkaggale w’ekibiina kya Democratic Party, Norbert Mao yekyusirizza mu kiti ng’embazzi n’alayiza obukulembeze bw’ekibiina e Masaka nga bano okusooka y’ali abesambye.
Mao y’akwataganye ne ssentebe wa DP e Masaka Fred Mukasa Mbidde ku mukolo gw’okulayiza abakulembeze oluvanyuma lw’okusisinkanamu ekiwayi ekikulemberwamu Florence Namayanja ekiwakanya obukulembeze buno.
Mao y’asuubizza nga abakulembeze b’ekibiina bwebagenda okutuula olunaku lw’enkya batunule mu kwemulugunya kw’abo bonna abawakanya obukulembeze obwakalondebwa.
Wabula Mao agamba abo bonna abatakkiriziganya na byava mu kulonda basaanye okutwala okwemulugunya kwabwe eri abakulira ekibiina mukifo ky’okwanjala ensonga zaabwe mu mawulire.
Ye Fred Mukasa Mbidde y’ategezezza nga obukulembeze bwe bwebugenda okukola ekisoboka okugatta bannakibiina mu bukulembeze bwe nga ssentebe e Masaka.