
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya wa FDC Dr. Kiiza Besigye agamba bannayuganda balina okukyusa endowooza zaabwe, kubanga endowooza ekyuuse yesobola okukwata obuyinza nti nakalulu tekagaba buyinza.
Ono abadde ku mbuga ye ssaza e Mukono mu kunoonya akalulu akomunda awanikire ekibiina bendera.
Besigye ategezezza nti ku mulundi guno atadde amaanyi mubyempuliziganya n’abantu babulijjo era nasubiza ebikolwa.
Mu lukungaana luno omubaka Betty Nambooze asubizza lwatu okuwagira Besigye kuba yamujja ku ndiri namutwala e South Africa okujanjabibwa.
Wano ayambalidde abantu abamunenya lwaki owa D.P ate awagira Besigye owa FDC.