
Abamu ku babaka okuva ku ludda oluvuganya gavumenti batandise okwekengera embeera eri mukago gwa The Democratic Alliance.
Kino kizze wakati mu kwemulugunya okuliwo okuva eri bannabibiina abagamba nti amateeka gamenyeddwa bwegwatuuse ku Amama Mbabazi.
Omubaka we Buikwe mu bukiikaddyo Dr Lulume Bayiga agambye nti engeri yokka abavuganya gyebayinza okuyitawo kwekusimbawo omuntu omu.
Ono era alumbye n’abo abatiisatiisa okuva mu mukago olw’obusonga omutali.
Bbo abavubuka okuva mu kibiina kya FDC bagamba nti ab’omukago keekadde batangaaze ku bigenda mu maaso mu mukago.
Bakulembeddwaamu Noor Dean Basalirwa ne Thomas Kayanja.