
Amyuka omukulembeze w’eggwanga Edward Kiwanuka Ssekandi olwaleero asiibudde abayizi 200 abagenze okusoma ebyobulimi mu yisirayiri okumala emyezi 11.
Abayizi bano beebamu kw’abo abasomye ebyobulimi mu yunivasite ezitali zimu.
Ekibatutte kussa mu nkola byebasomye era ng’abayizi bano bakugabibwa mu mafaamu agatali gamu
Sekandi agambye nti kino kirungi nnyo kubanga abayizi bajja kudda nga bakugu ate bayambe eggwanga okugenda mu maaso mu byobulimi ebisinga okubaamu abantu