Skip to content Skip to footer

Gavumenti ssi yakwewola

File Photo: Patrick Ocailap nga wuliriza omukyala  Geraldine owa Nssf
File Photo: Patrick Ocailap nga wuliriza omukyala Geraldine owa Nssf

Gavumenti etegeezezza nga bw’etagenda kwewola nsimbi ndala mu okuddukanya kulonda kwa 2016.

Kati Minisitule zonna n’ebitongole bya gavumenti ebirala bisaanye okwenyweza ng’eggwanika lya Uganda lyongera okunyweza mu nsasanya y’ensimbi.

Amyuka omuwandiisi w’eggwanika ly’eggwanga  Patrick Ocailap, agambye nti gavumenti egenda kugendera ku nsasaanya eyagerekebwa ogwasooka ku by’okulonda nga era ssibakwewola .

Ocailap agamba ensimbi z’okusasaanyizibwa mu by’okulonda bazisuubira kuva ku nsimbi ezikunganyizibwa mu musolo .

Leave a comment

0.0/5