Skip to content Skip to footer

babakenderezza ebibonerezo

Abantu munaana abaali batereddwa ku kibonerezo ky’okuttibwa oluvanyuma lw’okusingisibwa emisango gyanaggomola kkooti enkulu ebakendereza ku kibonerezo.

Bano baleeteddwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu Lawrence Gidudu n’abakendereza ku bibonerezo oluvanyuma lw’okwenenya nebasaba kkooti ebaddiremu.

Muno mubaddemu egy’obutemu, obunyazi n’emirala.

Omulamuzi Joseph Mulangira awulirizza  okusaba  kwabwe n’abajja ku kibonerezo eky’okuttibwa n’abazza  ku kibonerezo kyakusibwa wakati w’emyaka 26 okutuuka ku myaka 36, era n’alagira abasirikale ba makomera batandiike okubala okuva leero.

Wabula kkooti eganye okuddiramu omusajja eyatta mukyala we mu bitundu bye Mbale bweyamusanga ng’ayonsa omwana we n’amukuba emiggo egyamuttirawo n’amulesa ebbujje.

Ono nga ye Majidu Khika omulamuzi agaanye omukendeereza ku kibonerezo ky’okufa era n’alagira attibwe nga kkooti bweyali esazeewo mu kusooka.

Leave a comment

0.0/5