
Omusirikale wa UPDF gamumyuuse bw’asangiddwa nga afuyiisa mu paaka enkadde, yogayoga mu kkooti ya City Hall.
Omusirikale ono nga ye Emmanule Amaku akwatiddwa abasirikale ba KCCA ababadde balawuna ekibuga mu Kampala, era nga akwatiddwa lubona mu kikolwa.
Asimbiddwa mu kkooti y’omulamuzi w’eddaala erisooka Moses Nabende omusango n’agukkiriza, era neyetondera omulamuzi amusonyiwe nti era takyaddamu kufuyiisa mu bantu.
Wabula Omulamuzi amulagidde okusasula engassi ya kkooti ya mitwalo 40,000shillings oba okusibwa omwezi mulamba.
Era alabuddwa obutaddamu, kuba ekikolwa ky’akoze kimuswazizza nyo kuba ng’omusirikale wa UPDF alina kubeera eky’okulabirako eri abantu abalala.
Omwana ow’emyaka 14 agambibwa okumansamansa kasasiro mu luguudo asimbiddwa mu kkooti ya city Hall wano mu Kampala n’avunaanwa.
Bridget Nakawoya nga mutuze we Kawempe asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende amulagidde okusasula engassi ya kkooti ya mitwalo 15 oba okusibwa omwezi mulamba oluvanyuma lw’okukkiriza omusango.
Oludda oluwaabi lutegeezezza kkooti nti Nakawooya omusango yaguzza nga 15th omwezi guno wali mu zooni ya Kakungulu e Kawempe.
Omwana ono yetondedde kkooti emusonyiwe era nti takyaddamu naye omulamuzi n’amuwa ekibonerezo kya kusasula engassi ya kkooti ya mitwaalo 150,000shilling oba okusibwa omwezi mulamba, newankubadde omwana ono takola era nga muyizi w’ekibiina eky’omusanvu mu ssomero erimu e Kawempe.