
Abantu 26 beettiddwa mu ggwanga mu ssabbiiti emu yokka.
Bino biri mu alipoota ya poliisi efulumiziddwa olwaleero.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agambye nti ku bano munaana babafumita biso, basatu betta, bana battibwa mu bukubagano mu maka , bataano battibwa bantu abatwalira amateeka mu ngalo ate abalala ekyabatta tekyategerekese
Ebifulumiziddwa poliisi olwaleero bikyuusa ebyafulumizibwa mu kusooka nga biraga nti waaliwo okukka mu buzzi bw’emisango.
Ettemu lino erisinga lyaali mu disitulikiti ye Lira ne Moroto ate ng’abatwalira amateeka mu ngalo kusinga wano mu bitundu bya Buganda.