Ensonga y’abantu abasengulwa okuva ku luguudo lw’eggali y’omukka etuuse mu palamenti
Omubaka wa Lubaga mu bukiikaddyo John Ken Lukyamuzi y’aleese ensonga eno nga yemulugunya ku ngeri abantu gyebasengulwaamu
Lukyamuzi yebuuzizza lwaki KCCA epapiriza okugoba abantu ate nga n’enteekateeka zenyini z’eggaali y’omukka tezinnategerekeka
Amyuka sipiika Jacob Olanya asuubizza okutunula mu nsonga eno.
Bino byo nga bigenda mu maaso, beebasengula mu Ndeeba beebuuza lwaki KCCA yasengulako bbo n’ereka abaggagga.