Skip to content Skip to footer

Babiri balumbiddwa enjuki

File Photo: Abalunzi be njuki
File Photo: Abalunzi be njuki

Abantu babiri beebafuddde n’abalala 20 nebalumizibwa byansusso oluvanyuma lw’okulumbibwa enjuki e Butalejja

Kino kyabadde ku kyaalo Kachonga e Butaleja mu maka ga Muhamood Miya ng’ono mutabani we abadde yekulisa kamyufu ka NRM ake gombolola ye Naweyo.

Omwogezi wa poliisi ye Bukedi Michael Odongo agambye nti omugenzi ategerekese nga Yusuf Mutembuli n’omukyala omulala ow’emyaka 74 atategerekese mannya.

Enjuki zino nga ziwendudde, abantu badduse emisinde okutaaa obulamu bwaabwe era mu kanyigo akabadde, abawera balumiziddwa

Abasinze okukosebwa baana abali wakati w’emyaka 3 ne 15 kko n’abakyala be mbuto nga bajjanjabwa mu ddwaliro lye Mbale.

Abantu batandise dda okubitambuza nti enjuki zino zasindikiddwa abawanguddwa mu kamyufu.

Leave a comment

0.0/5