
Ekeleziya katolika etandise okusunsula abakulu abagenda okubeera okumpi ne paapa ng’akyadde kuno.
Ssabasumba w’essaza ekkulu erya Kampala Dr.Cyprian Kizito Lwanga agambye nti teri ajja kugaanibwa kwetaba ku mikolo gya paapa kyokka ng’abajja okumusemberera balina okusengejjebwa
Ssabasumba Lwanga agamba nti buli busumba bwakuwereeza abantu baabwo omunabeera abavubuka, abasomesa n’aba katikisimu olwo balondemu abanasisinkana paapa.
Paapa wakutuuka mu ggwanga nga 27 omwezi ogujja amale wano ennaku bbiri n’oluvanyuma eyolekere eggwanga lya Central African Republic.