Eyali akulira ekitongole ekikessi Gen David Sejusa akyaddeko ku kitebe ky’ekibiina kya DP wali ku kizimbe kya City House.
Sejusa yevumbye akafubo n’abamu ku b’akakiiko k’ekibiina abokuntikko nga bakulembeddwamu ssabawandiisi w’ekibiina Mathias Nsubuga.
Waliwo atayagadde kumwatukiriza manya atutegezezza nga ab’akakakiiko akokuntikko ak’ekibiina bwebateesa ku bugenyi bwa ssejusa era nebakkiriziganya abakyalire.
Bukyanga ava mu buwanganguse, sejusa azze akolokota omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni ku by’okutegeka mutabaniwe amusikire ku bwapulezidenti nga era azze asaba awumuzibwe okuva mu magye ekitanakolebwa.
Sejussa awerekeddwako Al Hajj Nasser Ntege Ssebagala ne Emmanuel Tumusiime.