
Gavumenti esabiddwa okuteekawo akakiiko kanonyereza ku bannakibiina kya FDC abagmbibwa okutulugunyizibwa poliisi ku luguudo oluva e Masaka okudda e Mbarara.
Nga ayogerako nebannamawulire amakya galeero, kamissiona akola ku nsonga z’eddembe ly’obuntu mu kibiina ky’amawanga amagatte mu Uganda UchennaEmelonye ategezezza nga okunonyereza ku nsonga eno bwekwetagisa.
Agamba kyannaku okuba nti n’omukyala yayambulwa wabula gavumenti netabaako kyekola.
Uchenna agamba abaserikale ba poliisi abayambula mukyala Zainab Naigaga basaanye okukangavvulwa era n’asaba ne poliisi okukomya okukwata abantu nga yekwaasa nti ebatangira kuzza misango.