Skip to content Skip to footer

Abalwanyisa enguzi balumbye ababaka ba palamenti

File photo: Ababaka ba Palimenti
File photo: Ababaka ba Palimenti

Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga batabukidde ababaka ba palamenti abazze babanja ensako okujja mu ntuula ez’enjawulo.

Akulira ekibiina kya Anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba baafunye amawulire agesigika nti ababaka basasulwa obukadde 15 buli omu mu mwezi 2 egiyise.

Kagaba agamba kino kilaga nti ababaka ba palamenti berowoozako bokka era basoosa bigendererwa byabwe ssibyabannayuganda.

Agamba ensimbi zino zisasanyizibwa ku babaka abali obulungi sso nga zandikozeseddwa okugonjoola ebizibu byannayuganda abangi .

Kagaba agamba olwakino bakuvaayo n’ebbago ly’etteeka erinayamba okukendeeza ku nsimbi ezitekebwa mu by’okulonda.

Leave a comment

0.0/5