
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze b’okukyalo kabale mu gombolola ye katabi wano e Wakiso, ssemaka bw’asazeewo okwetuga ng’ensonga mabanja.
Omugenzi ategerekese nga Ivan Tamwa, ng’ono asangiddwa ku muti gwa ffene e manju nga alengejja.
Ayogerera poliisi mu kampala n’emiriraano Patrick Onyango atubuulidde nti omugenzi abadde n’amabanja agatagambika, era nga abamubanja babadde bajja ewuwe buli kadde okukima ensimbi zaabwe.
Mu kaseera kano omulambo gutwaliddwa mu ddwaliro e Mulago.