Skip to content Skip to footer

Salva Kiir yegaanye endagaano

File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan
File Photo:Abakulembeze be biwayi ekilwanira e South Sudan

Omukulembeze w’eggwanga lya South Sudan  Salva Kiir  yetemye engalike ku ndagaano y’emirembe gyeyatekako omukono.

Kiir ategeezezza nga bweyasindikirizibwa  okuteeka omukono ku ndagaano y’emirembe.

Nga ayogerera ku televizoni y’eggwanga, Kiir ategezezza nga endagaano eno eyatekebwako omukono omwezi oguwedde bweyali enyomoola obwetwaze bw’eggwanga lye.

Wabula ategeezezza nga bwali omweteefuteefu okuteeka mu nkola ebyasalibwawo mu ndagaano eno yadde nga akimanyi bulungi nti ensobi nyingi ezigirimu.

Pulezidenti Kiir n’eyali omumyuka we Riek Machar baateka omukono ku ndagaano okukomekkereza okulwanagana mu ggwanga lino okwafiiramu abawerako.

Leave a comment

0.0/5