Bya Benjamin Jumbe

Olwaleero akakiiko kebyokulonda akatandise okurereza enkalla zabalonzi wakati mu kwetegekera okulonda kwe byalo, okubindabinda okubaawo omwezi ogujja.
Omulimu guno gugenda kumala ennaku 4 mu byalo, emitwalo 6 mu 800 okwetoola egwaaga.
Bwabadde ayogerako naffe omumyuka womwogezi wakakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agambye nti bakunoonyamu abatuuze abasubwa okwewandiisa.
Akati asabye abatuuze okukolagana obulungi nabo mu nteakteeka eno.