Bya Yasiin Mugerwa.
Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni alagidde ekitongole ekiwooza okwesonyiwa kaweefube gw’ekibaddeko ow’okulagira banka okubawa ebikwata ku akawunti z’abantu bonna abatereka ensimbi mu banka zino okuviira dala mu 2016.
Amawulire agasomoddwa okuva mu lukiiko lwaba Minister, President okutaama kyadiridde minister w’ebyensimbi Matia Kasaija okusaba cabinet emuwabule kungeri gy’ebagenda okuteeka kino mu nkola.
Kati wano President weyasinzidde neyeebuza oba URA gyebajja obuyinza okukola kino, kubanga ebyama byebasaba okuva eri banka zino birina kusigala nga by’akyama.
Yye minister akola ku by’amateeka Kahinda Otafire yategeezeza president nti n’abamu kubanna- uganda babade batandiise okujjayo ensimbi zaabwe mu banka, kale nga kino kigenda kukosa eby’enfuna
Kati bano president abasabye babiveeko mu bwangu.