Bya Benjamin Jumbe ne Gertrude Mutyaba
Efifananyi: Kijiddwa mu bikadde
Abantu abali mu 500 basigadde tebalina wa kwegeka luba ku mwalo gwe Nkese mu district ye Kalangala, oluvanyuma lwomuliro okusanyawo ebyabwe.
Omwalo guno gusangibwa mu gombolola Bubeke e Kalangala.
Bwabadde ayogerako naffe atwala ekitebbe kya Red Cross e Kalangala Ibrahim Ssenyonga ategezeza nti okwekenneya kwebakoze bazudde nti, omuliro guno gwatandise mu kiro nga gulanze okutuuka mu mayumba 137 namadduuka ne ssi=undiro lyamafuta.
Omuliro kigambibwa gwatandikidde mu kiriiro kye mmere.
