Skip to content Skip to footer

Okulonda kwe Municipaali ye Mukono kususseemu akavuyo

File Photo: Nambooze ngali ne Besigye
File Photo: Nambooze ngali ne Besigye

Akulira eby’okulonda e Mukono Sarah Namugambe awabudde nti okulonda kwa municipaali eno kuyimirizibwe olw’effujjo erisusse.

Kino kiddiridde efujjo n’okulwanagana ebisusse mu kitundu kino nga abesimbyewo abawerako bamenya amateeka g’ebyokulonda.

Namugambe alumiriza omubaka w’ekitundu kino Betty Nambooze okukyankalanya olukungaana olwabadde lutegekeddwa ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda okugonjoola obutakkanya obuli mu kampeyini.

Nambooze yecanze n’atetaba mu lukiiko luno nga agamba lwabadde lunaku lukulu kale nga olukiiko lwategekeddwa ku lunaku lukyamu.

 

Kati ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda Eng Badru Kigundu awagidde abesimbye ku Nambooze amagezi bekubire enduulu eri akakiiko k’ebyokulonda ku neyisa ye.

Leave a comment

0.0/5