Skip to content Skip to footer

Abayizi e Makerere nate bekalakaasizza

Bya Damalie Mukhaye

Abayizi ku ttendekero ekkulu mu gwanga olwaleero bavudde mu mbeera nebatanula okwegugunga, nga bawakanya okwongeza kwebisale okwe 15% nga bwekyayisibwa olukiiko olwa university council.

Okwekalakaasa kutandikidde ku Lumumba hall ngeno abayizi abawerako bakwatidwa, atwala apoliisi ye Makerere.

Abayizi bakyalambidde, nti ekyasalibwawo okwongezaabayizi kyali kikyamu kubanga besigama ku bakulembeze babayazi 7 bokka.

Ono era awakanya enkola eyaletebwa okufunagamu, ebivudde mu bigezo, okuyita ku mitimbagano, nga basasula emitwalo 2 wabula bagamba nti tebasooka kubasomesa kimala.

Leave a comment

0.0/5