Bya Samuel Ssebuliba.
Abakulu mu kibiina kya ZANU ekifuga mu gwanga lya Zimbabwe bategeezeza nga bwebatandise entegeka ez’okujja obwesige mu President Robert Mugabe oluvanyuma lw’okugaana okwegoba yekka
Kinajukirwa nti omukulu ono yabedde asabiddwa erekulire yekka obutasuka saawa muasanvu eza Uganda, kyoka bakanze kulinda nga omukulu teyeenyenya
Kati bano bagamba nti kyebazaako kwekugenda mu parliament enkya baleete ekiteeso ekimujamu obwesige, bwekiyitamu aba takyayinza kusigala nga yeeyita president
Yye Mugabe tanabaako kyanyega ku nsonga eno.