Bya Damalie Mukhaye
Entiisa ebutikidde abatuuze be Entebbe mu Kitooro bwebagudde ku mulambo gwa munaabwe, omukyala nga guvunda.
Okusinziira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemiriraano Luke Owoyesigyire omugenzi ye Nasaali Regina abadde atemera mu myaka 58, ngomulambo gwe gusangiddwa mu nnyumba nga guvunze.
Balirwana bebawulidde ekivundu era bwebafuddeyo okumanya nebagwa ku mulambo.
Poliisi egamba nti, balirwana babategezezza nti babade basemba okumulabako ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde 17th.
Okunonyererza kugenda mu maaso okuzuula kiki ekyamutta.