
Kitegerekese nga ensisinkano wakati wa Amama Mbabazi n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni bwetavuddemu kalungi.
Munnamateeka wa Mbabazi Fred Muwema ategezezza nga pulezidenti Museveni bw’atasazewo oba Mbabazi waddembe okugenda mu maaso n’okwebuuzakwe oba nedda.
Wabula Muwema agamba yadde nga guli gutyo Mbabazi wakugenda mu maaso n’enteekateeka z’okwebuuza ku balonzi olunaku lw’enkya’e Mbale.