Skip to content Skip to footer

Poliisi ekoze ebikwekweto ku masabo

Bya Barbra Nalweyiso

Poliisi e Mityana bakoze ebikwekweto ku masabo mu tawuni kanso ye Busunju agabade gakyakungaanya abantu nokujemera ebiragiro byomukulembeze we’gwanga.

Abasangidwa ku ssabo eddene erimanyidwa nga “Kawala Namirembe” ku kyalo Kirima mu divizoni ye Tamu abasoba mu 100 bagambye nti nabo tebayagala kubeera mu kifo ekyo naye baafuna obubaka okuva mu misambwa nga babalagira okujja wano okusamira.

Wano wasangiddwawo amasabo agasoba mu 30.

Kati RDC Yassin Ndidde atubulide nti oluvanyuma lwokukola ekikwekweto ekiffo kigadwababusse ku ttaka.

Leave a comment

0.0/5