Bya Steven Ariong.
Obunkenke buzeemu okuzingako ekitundu kya Karanmojja, nga kino kidiridde abalunzi b’ente abamanyiddwa nga aba Jie okuddamu okulwanagana n’amagye ga UPDF ababatangira okwetaba mu bubbi bw’ente.
Tutegeezeddwa nti abalunzi b’ente bano kati batandise okuteeka emisanvu mu makubo nga banyaga ente nadala mu district ye Moroto, Kotido ne Kaabong.
Capt Abert Arinaitwe nga ono yaduumira ekibinja ky’amagye ga UPDF eky’okusatu agamba nti UPDF wakati wa 29th of October2017 ne 28th of January 2018 yakatta abalwanyi abakaramoja 30.