Bya Samuel ssebuliba.
Mu gwanga lya Kenyaa ab’obuyinza bataamye okukakana nga baliko TV satu zebagye ku mpewo nga zino baziranze kwesiba ku kyakulaga butereevu ebigenda mu maaso kukulayira kwa Raila Odinga n’omumyukawe Kalonzo Musyoka.
TV eziigaddwa kuliko NTV- Kenya , Citizen ne Inoro TVs, wabula nga abazikulira batubuulide nti tebamaze nakufuna kulabula kwonna
Gyebuvudeko waliwo ekiwandiiko ekivuddde mu bakulira abasunsuzi b’amawulire mu Kenya nga kivumirira ebigenda mu maaso, nadala nga bikolebwa ekibiina ekya jubilee ekiri mu buyinza.
Linus Kaikai nga ono ye ssentebe wekibiina kino agamba nti enkola eno eyokulemesa banamawulire okwetaaya efuuse yabuli kaseera mu gwanga lino , wabula nga kirina okukoma
Mukaseera kano abawagizi b’omukago gwa NASA baakyagenda mu maaso okweyiwa mu Uhuru Park nga betegekera okulayira kwa Raila Odinga nga president w’abantu
///////////