
Ekibiina kya NRM kikoze enkyukakyuka mu nteekateeka zaakyo ez’okwetegekera akalulu ka 2016 nga kati ttabamiruka wakubeerawo nga 30 October
Ttabamiruka Ono wakugendera ddala okutuusa nga 2 November nga era omuntu waabwe agenda okubakwatira bendera ku bwa pulezidenti wakusunsulibwa nga 3 November.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino Tanga Odoi ategezezza nti okulonda kwabassenebe ba disitulikiti, ba kansala mu Kampala. Ku municipaali nekubagombolola kwakubaawo nga 12 October.
Odoi agamba kko akamyufu k’ababaka ba palamenti okwetolola eggwanga n’abakulembeze ba zisitulikiti kwakuberawo nga 26 October 2015.
Mungeri yeemu ekibiina kitegezezza nga bwekyafunye ebbaluwa entongole okuva eri minisita omubeezi ow’ebyettaka Ida Nantaba ku ky’okwesimbawo nga atalina kibiina.
Odoi agamba ekibiina kyamuzzemu dda nga bbo bakugenda mu maaso n’emirimu gyabwe.
Odoi on Nantaba.
@@@@@@@@@@@@@@