
Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu be okwagazisa abaana abato enkola ya bulungi bwansi.
Beene bino abyogedde atongoza omugga ogugatta e gombolola ye Katabi ku ye ssisa mu kulambulakwe okw’e ssaza ly’e Busiro wakati mu kukuza olunaku lwa Bulungibwansi wamu n’emefuga ga Buganda..
Kabaka agambye nti abaana basaana kuva buto nga benyigira mu ntekateka eno nga kunkola egenda okuzza Buganda ku ntikko.
Ye Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asiimye nyo abaami ba ssabasajja olw’okwewayo nebakola emirimu gya Buganda okulaba nga edda ku ntikko.
Katikiro era akubirizza abantu ba ssabasajja obutalinda balala kubakolerera wabula bbo benyi bekwatiremu.
Enkya omutanda wakulambula ebitundu bye Wakiso.