Skip to content Skip to footer

Mbabazi akwatiddwa

File Photo: Kaweesi nga yogeera
File Photo: Kaweesi nga yogeera

Eyali ssabaminisita w’eggwanga John Patrick Amama Mbaabzi akwatiddwa poliisi ku lutindo lwa Kiyira e Jinja.

Okukwatibwa kwa Mbabazi kukakasiddwa aduumira ebikwekweto bya poliisi mu ggwanga Andrew Felix Kaweesi atyegezezza nga Mbaabzi bweyamulabudde obutageza kugenda Mbali kyanyomodde.

 

Mbabazi abadde agenda Mbale kwebuuza ku balonzi be ku by’okwesimbawo ku bwapulezidenti mu 2016.

Mbabazi y’aweze obutapondooka ku ky’okugenda e Mbale poliisi nebwenamutega mamba wakugibuuka.

Bbo abamu ku babaka ba palamenti ab’oludda oluvuganya gavumenti bategezezza nga bannayuganda bwebasana obutaddamu kukombya mukulembeze w’eggwanga ku kalulu.

Omubaka wa Busiro East Medard Lubega Sseggona akolokose poliisi n’ategeeza nga bwesaanye okukozesa akakodyo k’okukwata abantu nti abaziyiza kuzza misango.

Leave a comment

0.0/5