
Eyali ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Dr. Kiiza Besigye naye akwatiddwa.
Besigye akwatiddwa nga yakava mu makage e Kasangati okukuba kampeyini ye esooka ku ky’okukwatira ekibiina kye bendera mu kulonda kwa pulezidenti okwa 2016.
Omuwandiisi w’okukubiriza banakibiina Ingrid Turinawe akakasizza okukwatibwa kwa Besigye.
Besigye abadde asuubirwa okutongoza kampeyini ze ez’okukwatira ekibiina kya FDC bendera mu kulonda kwa pulezidenti okw’omwaka ogujja nga olweggulo asuubirwa Kawempe ku growers.
Ye bwebavuganya era ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu asuubirwa okutongoza kampeyini ze ku lwomukaaga luno wali e Kabaale.