Bya Damali Mukaye Akabondo kábabaka abóludda oluwabula gavumenti mu Parliament kasizza kimu nga nkuyege okukozesa amaloboozi gabwe mu Parliament okuwaliriza gavumenti okuyimbula Dr Kiiza Besigye okuva mu komera gyakuumirwa e Luzira. Bano abasoose okwevumba akafubo kebatakkirizzamu bannamawulire ku Parliament era baweze obutakoma ku kubanja Dr Besigye yekka wabula nábantu abalala abakwatibwa olwénsonga zébyóbufuzi nga tebarina…
