Skip to content Skip to footer

Besigye akwatiddwa

File Photo: Police nga ekwatta Besigye
File Photo: Police nga ekwatta Besigye

Eyakwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr Kiiza Besigye akwatiddwa.

Poliisi ekutte Besigye bw’abadde afuluma okuva mu makage e Kasangati nga era kati tukitegeddeko nti akuumibwa ku poliisi ye Naggalama.

Dr Kiiza Besigye abadde ayolekera ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda okubanja empapula okuli ebyavudde mu kulonda ebyawadde pulezidenti Museveni obuwanguzi  ye ky’awakanya nga agamba babbye obululu bwe.

Mungeri yeemu bannamawulire batabuse oluvanyuma lw’omu ku baserikale ba poliisi okubakubamu omukka ogubalagala.

 

Okuva olwokutaano oluwedde, poliisi ebadde ekyakumira Besigye mu makage.

Leave a comment

0.0/5