Skip to content Skip to footer

Aba taxi beekalakaasizza e Kenya

taxi demo

Eby’entambula bisanyaladde mu kibuga kya Kenya ekikulu Nairobi oluvanyuma lw’abagoba ba Taxi okwekalakaasa.

Bano babadde beeekalakaasa lwa nsimbi z’okusimba mu kibuga okwongezebwa

Meeya w’ekibuga kino Evans Kidero yeeyarangiridde ensimbi zino.

Aba taxi bano batadde emisanvu mu makubo era ng’abantu balabiddwaako nga batambuza bigere.

Ne meeya yenyini eyaleese amateeka gano, naye alozezza ku bukambwe bwa ba Taxi bano bwebamugaanye okutambulira mu mmotoka ye era gyebigweredde ng’atambuzza bigere.

Taxi y’entambula esinga okukozesebwa mu kibuga Nairobi.

Leave a comment

0.0/5