Skip to content Skip to footer

Besigye akwatiddwa

File Photo: Police nga ekwatta Besigye
File Photo: Police nga ekwatta Besigye

Omukka ogubalagala gunyoose nga poliisi ekwata akutte bendera ya FDC ku bukulembeze vw’eggwanga Dr Kiiza Besigye.

Besigye akwatiddwa bw’abadde ku kawefube we okuyigga akalulu mu masekkati g’ekibuga era nga bw’atuuse wali ku bitaala bya Jinja road, poliisi n’emusalako.

Wano abantu bagezezzaako okugiremesa okumutwala era ekiddiridde mukka gubalagala nebamutwala.

Ono akwatiddwa n’omubaka Nabila Naggayi Sempala bwebabadde nga batalaaga ebitundu bya Kampala.

Besigye abadde agenda ku luguudo lwa Nasser , mu Katale e Nakasero ne ku Container Village ate oluvanyuma afundikire n’olukungaana ku Nabagereka primary school.

Bbo abantu bakungaanidde ku poliisi ye Kira Road gy’abadde atwaliddwa era okukkakkana nga poliisi ebijjeemu enta n’emujjawo.

Okunziira ku ayogerera poliisi mu Kampala n’emiriraano Patrick Onyango agamba nti Besigye bamukutte kulemesa kavuyo kabaddi kayinza okubaawo ssinga ayise mu kibuga wakati

Leave a comment

0.0/5