
Emirimu gisanyaladde mu bitundu ebiriraanye akatale ka Kisekka ne mu katale kenyini.
Poliisi eggadde oluguudo lwe Kyaggwe nga luno lweluyita ku Eqautorial mall okutuukira ddala eri wansi nga teri wa bigere yadde motoka ekkirirayo
Kino kikoleddwa oluvanyuma lwa poliisi okufuna amawulire nti waliwo abagaala okwekalakaasa nga bavumirira okukwatibwa kwa Dr Besigye
Abasuubuzi abakolera mu katale kano baggadde amaduuka era nga bangi balabiddwaako nga balingiza okulaba ebigenda mu maaso.
Omusasi wadde Moses Ndhaye atugambye nti abapoliisi mu kibuga wakati okuviira ddala ku city square okutuuka ku KPC bangi ddala nga n’ebimotoka bya ttiyagaasi byeriisa nkuuli