Skip to content Skip to footer

Burundi erina okudda ku mulamwa

File Photo : Abantu be burundi
File Photo : Abantu be burundi

Abakulu mu mukago ogutaba obuvanjuba bwa Africa bategeezeza nga bwebali abamalirrivu okulaba ng’egwanga lya Burundi liddamu okuloza ku mirembe

Ssabawandiisi w’omukago guno Dr Richard Sezibera  era awakanyizza  ebizze byogerwa nti omukago gwandiba nga ebya burundui byaguvaako dda , ekiviiriddeko abantu okugenda mu maaso nga batingana

Ono agamba nti mu kaseera  kano bingi ebikolebwa okulaba nga emirembe gidda, naddala okuperereza enjuuyi eziyombagana zidde ku meeza

Kinajukirwa nti Burundi ebadde mu ntalo okuviira ddala pulezidenti Nkurunziza lweyasalawo okweyongeza ekisanja

Leave a comment

0.0/5