
kya NRM
Ab’ekibiina kya NRM balubudde abagenda okwesimbawo ku kukozesa emotoka za gavumenti okuwenja obululu.
Ekibiina kino kifulumizza enteekateeka zaakyo nga ttabamiruka wakukwatibwa nga 30th omwezi guno ate ng’akamyufu ku bifo bya wansi nako ka guno omwezi.
Akulira akakiiko akalondesa Dr Tanga Odoi agambye nti okuva olunaku lw’enkya , teri minisita agenda okukkirizibwa okukozesa emotoka ya gavumenti kubanga kampeyini ku bagaala okukiika mu palamenti lwezitandika.
Anyonyodde nti ba memba b’akakiiko bamaze okusindikibwa mu bitundu ebyenjawulo era anamenya amateeka wakuwandukululwa