
Akwatidde ekibiina kya FDC bendera ku bwapulezidenti Dr. Kiiza Besigye alabudde poliisi okwewala okutataganya enkungaana zabwe zebateesetese okukuba.
Besigye aweze nga bwebagenda okuggulawo ofiisi z’ekibiina mu tawuni ye Bugiri olwo bakube olukungaana mu paaka ye Bugiri.
Besigye agamba ekibiina kye kirina eddembe okukunga abawagizi awatali abakuba ku Mukono.
Agamba nti bakugoberera enteekateeka zaabwe ez’okukuyega abalonzi okusobola okuleetawo enkyukakyuka mu ggwanga.
Besigye agamba ebitongole ebikuuma ddembe bisanye kukolagana bulungi nabo bave mu by’okubatulugunya nga babakwata nga eky’okuttale kubanga kimenya ssemateka w’eggwanga.
Agava mu maka ga Besigye galaga nga kati poliisi bwetuuse okutangira Besigye okufuluma ewuwe wabula nga tekinategerekaka oba mwali oba nedda.
Abamu ku bawagizi ba FDC bakedde mu maka gano okulinda Besigye okuvaayo era twogeddeko n’abamu ku bbo.