
Poliisi eriko omugoba w’emmotoka gw’etasizza ku batuuze ababadde baagala okumugajambula lwakutomera mwana ow’emyaka 4 n’amutta.
Abatuuze ababadde baswakidde era balumbye poliisi Francis Ochaya gy’abadde akumibwa nebagezaako okugimenya bamwekolereko.
Bino byonna bibadde ku kyalo Palabek Kal mu disitulikiti ye Lamwo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Patrick Jimmy Okema ategezezza nga omusibe kati bwebamukyusizza nebamutwala mu kkomera lye Lamwo ekkulu.
Okema alabudde abatuuze okukomya okutwalira amateeka mu mungalo kubanga bimenya mateeka.