Skip to content Skip to footer

Ababaka bafuuse ebakyekkusa- balwanyisa enguzi

File photo: Ababaka ba Palimenti
File photo: Ababaka ba Palimenti

Abalwanyisa obuli bw’enguzi mu ggwanga batabukidde ababaka ba palamenti abazze babanja ensako okujja mu ntuula ez’enjawulo.

Akulira ekibiina kya Anti-corruption coalition Uganda Cissy Kagaba agamba baafunye amawulire agesigika nti ababaka baasasulwa obukadde 15 buli omu mu mwezi 2 egiyise.

Kagaba agamba kino kilaga nti ababaka ba palamenti berowoozako bokka nambuto zaabwe era basoosa bigendererwa byabwe ssibyabannayuganda.

Agamba ensimbi zino zisasanyizibwa ku babaka abali obulungi sso nga zandikozeseddwa okugonjoola ebizibu byannayuganda abangi .

Kagaba agamba olwakino bakuvaayo n’ebbago ly’etteeka erinayamba okukendeeza ku nsimbi ezitekebwa mu by’okulonda.

Leave a comment

0.0/5