Skip to content Skip to footer

Omubaka James Kakooza asimattuse akabenje

Omubak we ssaza lye Kabula mu palamenti James Kakooza nomudereva we basimattuse akabenje, nga wetwogerera bali mu ddwaliro ekkulu mu district ye Mbarara, gyebafunira obunjanjabi.

Mu kabenje kekamu akagudde ku kyalo Lwebiteete mu gombolola ye Kiruhura mu district ye Lyantonde omuntu yaluguzeemu obulamu.

Omubaka  Kakooza abadde mu mmotoka ye kika kya Toyata premio namba UBB 826/A, nebatomera omusajj abadde ku pikipiki, ategerekese nga Enos Kisakye nga kitegezeddwa nti abadde musumba ku kanisa ya Lwebiteete, anadde Church of God ngono afiriddewo mbulaga.

Omusumba ono ku pikipiki abaddeko nabantu abalala 2 nga bano baddusiddwa mu ddwaliro e Lyantonde gyebafunira obujanjabi.

Aberabiddeko bagamba nti akabenje kano kaavudde ku mmotoka yomubaka ebadde ewenyuka obuweewo, ngeremeredde omugoba waayo, kwekutomera owa pikipiki.

Omuddumizi wa poliisi mu maseremgeta ge gwanga Latif Zaake akaksizza akabenje kano, ngakatadde ku kuvuga ndiima.

Leave a comment

0.0/5