Bya samuel ssebuliba
Police nga eyambibwako ab’ekibiina ekya Natural Resources Conservation Network bakutte abasajja 2 e Maracha nga bano basangiddwa n’amsanga 9 agabalirirwamu obukadde 17.2 .
Abakwatiddwa kuliko Chaku Ndabah munansi wa Congo ne James Aniku nga bano mukaseera kano baggaliddwa ku Arua Central Police Station.
Twogedeko ne Winnie Namayenje nga ono yemunamateeka wa Natural Resource Conservation Network n’agamba nti bano akadde konna bagenda mu kooti.