Bya samuel ssebuliba.
Mu kenya agavaayo galaga nga kooti ensukulumu bwesazeewo nti okulonda kw’obwa president okwali mu gwanga lino ga 26th kwategekebwa mu mateeka , era nga nebyakuvaamu biri mu mateeka.
Kooti eno bwebadde ewa ensala yaayo, abalamuzi bonna omusanvu bakaanyiza nti okwemulugnya kwonna okw’emirundi esatu okwatalibwayo tekwalimu mulamwa, kale nga kugobeddwa
kati okunzira ku ntekateeka, Kenyatta agenda kulayizibwa mu Sabiiti emu yokka kuva kati.